John 3:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagenda ewa Yowanna, ne bamugamba nti: “Rabbi, oli eyali naawe emitala wa Yorudani, era gwe wayogerako, laba wuuli abatiza, na bonna bagenda gy'ali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala w’omugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gy’ali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bajja eri Yokaana, ne bamugamba nti, “Labbi oli eyali naawe emitala wa Yoludaani, gwe wategeeza, laba, oyo abatiza; n'abantu bonna bagenda gy'ali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagenda eri Yowanne, ne bamugamba nti: “Rabbi, oli eyali naawe emitala w'omugga Yorudaani era gwe wayogerako, kaakano abatiza, era abantu bonna bagenda gy'ali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bajja eri Yokaana, ne bamugamba nti Labbi, oli eyali naawe emitala wa Yoludaani, gwe wategeeza, laba, oyo abatiza; n'abantu bonna bajja gy'ali.