John 3:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowanna n'ayanukula nti: “Omuntu tayinza kufuna kintu na kimu okuggyako ekyo ekimuweebwa okuva mu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokaana n’abaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yokaana n'addamu n'agamba nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu kyonna wabula ng'akiweereddwa okuva mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowanne n'addamu nti: “Omuntu tayinza kuba na kintu, wabula nga Katonda ye akimuwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yokaana n'addamu n'agamba nti Omuntu tayinza kuganya kigambo kyonna wabula ng'akiweereddwa okuva mu ggulu.