John 3:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alina omugole y'aba awasizza; mukwano gw'awasizza amubeera okumpi ng'awuliriza, abugaana essanyu ng'awulira eddoboozi lye. Awo nno eryo lye ssanyu lye mpulira, era lijjuuliridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ng’amuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alina omugole ye awasa; naye mukwano gw'oyo awasa, ayimirira ng'amuwulira, asanyukira nnyo eddoboozi ly'oyo awasizza; kale essanyu lyange eryo lituukiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugole aba w'oyo awasizza. Mukwano gw'oyo awasizza omugole, amubeera kumpi n'awuliriza, n'asanyuka nnyo okuwulira eddoboozi ly'oyo awasizza omugole. Bwe kityo essanyu lyange lituukiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alina omugole ye awasa: naye mukwano gw'oyo awasa, ayimirira ng'amuwulira, asanyukira nnyo eddoboozi ly'oyo awasizza: kale essanyu lyange eryo lituukiridde.