John 3:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda; anti Katonda Mwoyo we tamwegabyagabya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda; kubanga Katonda amuwa Omwoyo we omujjuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga oyo Katonda gwe yatuma, ayogera ebigambo bya Katonda, kubanga Katonda amuwa Mwoyo we omujjuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda: kubanga, bw'agaba Omwoyo, tamugera.