John 3:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akkiriza Mwana, alina obulamu obutaggwaawo; naye agaana okuwulira Mwana, taliraba ku bulamu; Katonda asigala akyamusunguwalidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akkiriza Omwana, aba n'obulamu obutaggwaawo. Kyokka atakkiriza Mwana, taba na bulamu obutaggwaawo, wabula asunguwalirwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.