John 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nikodemo n'amugamba nti: “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa ng'ate mukadde? Ayinza okudda nate mu nda ya nnyina n'azaalibwa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nikodemo n’amuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw’aba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, n’azaalibwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nikoodemo n'amugamba nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina n'azaalibwa omulundi ogwokubiri?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nikodemo n'amubuuza nti: “Omuntu akuze ayinza atya okuzaalibwa nate? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina, n'azaalibwa omulundi ogwokubiri?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nikoodemo n'amugamba nti Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw'okubiri, n'azaalibwa?