John 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'addamu nti: “Nkugambira ddala mazima nti wabula ng'oli azaaliddwa mu mazzi ne Mwoyo Mutuukirivu, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’Omwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu nti: “Mazima ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo Mutuukirivu, tayinza kuyingira Bwakabaka bwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu nti Ddala ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.