John 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empewo ekunta edda gy'eyagala, n'okuwuuma kwayo okuwulira, sso tomanyi gy'eva na gy'eraga; na buli yenna azaalibwa Mwoyo bw'aba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Empewo ekuntira gy’eyagala, n’owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva newaakubadde gyegenda; bw’atyo bw’abeera omuntu yenna azaalibwa Omwoyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kwayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda; bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empewo gy'eyagala gy'ekuntira. Owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy'eva na gy'eraga. Buli muntu azaalibwa Mwoyo, bw'atyo bw'aba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kw'ayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda: bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo.