John 4:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bwe yamanya ng'Abafarisaayo bawulidde nti Yezu agunze era abatiza abayigirizwa bangi n'okusinga Yowanna -
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ng’abatiza bangi okusinga Yokaana,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama waffe Yesu bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti ayigiriza era abatiza bangi okusinga Yokaana,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yamanya ng'Abafarisaayo bawulidde nti afuna era abatiza abayigirizwa bangi okusinga Yowanne, (
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama waffe bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti Yesu ayigiriza era nti abatiza bangi okukira Yokaana,