John 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amwanukula nti: “Oba kutegeera kirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti: ‘Mpa nnyweko,’ wamma ggwe wandimusabye, ye n'akuwa amazzi amalamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, era ng'omanyi oyo akugamba nti: ‘Mpa ku mazzi nnyweko,’ ggwe wandimusabye, era yandikuwadde amazzi amalamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'amugamba nti Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.