John 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Leero ggwe onookira jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno, yennyini mwe yanywanga n'abaana be n'amagana ge?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyanywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno mwe yanywanga ye, n'abaana be, era n'ensolo ze?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyanywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze?