John 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye alinywa ku mazzi ge ndimuwa, taliddayo kulumwa nnyonta; amazzi ge ndimuwa, mu ye galifuuka nsulo ya mazzi agaligenda gatumbiira okutuusa mu bulamu obutaggwaawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye buli anywa ku mazzi ge ndimuwa, taliddayo kulumwa nnyonta emirembe n'emirembe, kubanga amazzi ge ndimuwa, mu ye galifuuka ensulo eneevangamu amazzi amalamu, n'emuwa obulamu obutaggwaawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.