John 4:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago nneme kulumwa nnyonta na kujjanga kukima wano mazzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme okunnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okujjanga wano okusena amazzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago, nneme kulumwanga nnyonta, wadde okujjanga wano okusena amazzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi n'amugamba nti Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme okunnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okusenanga.