John 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno, sso nga mmwe mugamba nti Yeruzaalemu kye kifo abantu mwe balagiddwa okusinziza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe Abasamariya, bajjajjaffe ku lusozi luno kwe baasinzizanga Katonda. Naye mmwe Abayudaaya mugamba nti Yerusaalemu kye kifo, mwe tuteekwa okusinzizanga Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.