John 4:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka obudde buli kumpi, n'okutuuka butuuse abasinza abatuufu mwe bagenda okusinziza Taata mu mwoyo ne mu mazima; ne Taata abamusinza bwe batyo b'anoonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima, kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza mu ngeri entuufu, basinzenga Kitaffe mu mwoyo era mu mazima, kubanga Kitaffe abamusinza bwe batyo, b'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga.