John 4:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kaseera ako kennyini n'abayigirizwa be ne batuuka; ne bamwewuunya okwogera n'omukazi. Sso tewaali yagamba nti: “Obadde oyagala ki?” oba nti: “Obadde oyogera ki naye?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okulaba ng’ayogera n’omukazi. Kyokka ne watabaawo amubuuza nsonga emwogezezza naye wadde bye babadde boogerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi, naye tewali muntu eyabuuza omukazi nti, “Onoonya ki?” Oba eyabuuza Yesu nti, “Kiki ekikwogeza naye?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okusanga ng'ayogera n'omukazi. Kyokka ne wataba abuuza mukazi nti: “Oyagala ki?” Oba abuuza Yesu nti: “Lwaki oyogera naye?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi: naye tewali muntu eyagamba nti Onoonya ki? oba nti Kiki ekikwogeza naye?