John 4:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba omukazi nti: “Tetukyakkiriza lwa kubeera bigambo byo, kubanga naffe ffennyini twewuliridde, kati tumanyi ng'ono ddala ye mulokozi w'ensi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bagamba omukazi nti, “Tumukkiriza si lwa bigambo byo byokka, naye naffe twewuliridde ebigambo bye. Ddala tutegedde nga ye Mulokozi w’ensi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bagamba omukazi nti, “Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba omukazi nti: “Kaakano tukkiriza, si lwa bigambo byo, wabula kubanga tumwewuliridde ffe ffennyini, ne tumanya ng'ono, ddala ye Mulokozi w'ensi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bagamba omukazi nti Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.