John 4:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuuka mu Galilaaya, Abagalilaaya ne bamwaniriza, kubanga baali balabye byonna bye yakola mu Yeruzaalemu ku mbaga enkulu, kubanga nabo baali bagenze ku mbaga enkulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abagaliraaya ne bamwaniriza n’essanyu lingi nnyo, kubanga baali bamaze okulaba eby’amagero bye yakolera mu Yerusaalemi bwe baali ku Mbaga ey’Okuyitako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga, kubanga nabo baagenda ku mbaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe yatuuka e Galilaaya, Abagalilaaya ne bamwaniriza, kubanga nabo baali bagenze e Yerusaalemu, ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne balaba byonna bye yakola ku Mbaga eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga: kubanga nabo baagenda ku mbaga.