John 4:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'addayo ate e Kana eky'e Galilaaya, amazzi gye yagafuulira evviini. Mu Kafarunawumu waaliyo omukungu eyali alwazizza mutabani we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’akomawo mu Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti ow’e Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ajja nate e Kaana eky'e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'addayo e Kaana eky'e Galilaaya, gye yafuulira amazzi omwenge ogw'emizabbibu. Waaliyo omukungu wa kabaka, eyalina mutabani we, ng'alwalidde e Kafarunawumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ajja nate ku Kaana eky'e Ggaliraaya, mwe yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu.