John 4:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yawulira nga Yezu avudde mu Buyudaaya n'ajja mu Galilaaya, n'agenda gy'ali n'amwegayirira aserengeteyo awonye mutabani we eyali okumpi n'okufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi n’okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yawulira nti Yesu avudde mu Buyudaaya atuuse mu Galilaaya, n'agenda gy'ali, n'amwegayirira aserengete e Kafarunawumu, awonye mutabani we, eyali ng'ali kumpi okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa.