John 4:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'atuuka ku kibuga kya Samariya ekiyitibwa Sikari, ekiriraanye ennimiro Yakobo gye yali awadde mutabani we Yozefu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samariya, ekiyitibwa Sikari, ekiriraanye ennimiro Yakobo gye yawa mutabani we Yosefu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya, kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu: