John 4:51 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali aserengeta, abaweereza be ne bamusisinkana, ne bamubuulira ng'omwana we bwe yalamuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yali ng’akyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti mutabani we awonye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti, “Omwana we mulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'akyali mu kkubo, abaddu be ne bamusisinkana, ne bamutegeeza nti omwana we mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti omwana we mulamu.