John 4:53 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kitaawe n'ategeera nga ye ssaawa eyo Yezu gye yamugambiramu nti: “Mutabani wo ajja kulamuka.” Naye yennyini n'akkiriza, n'amaka ge gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo n’ab’enju ye bonna ne bakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti, “Omwana wo mulamu;” ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kitaawe w'omwana n'ajjukira nti eyo ye ssaawa yennyini, Yesu mwe yamugambira nti: “Omwana wo mulamu.” Awo ye, awamu n'ab'omu maka ge bonna, ne bakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti Omwana wo mulamu: ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna.