John 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluzzi lwa Yakobo lwali awo. Yezu bw'atyo olugendo nga lumukooyezza, n'atuula awo ku luzzi. Essaawa yali nga ya mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olw'olugendo, n'amala gatuula awo ku luzzi, obudde zaali nga ssaawa mukaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Yesu n'atuula awo ku luzzi, ng'olugendo lumukooyezza. Essaawa zaali nga mukaaga ez'omu ttuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olugendo, n'amala gatuulirawo ku luzzi, obudde nga ssaawa mukaaga.