John 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi Omusamariya n'amugamba nti: “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze omukazi Omusamariya okunywa?” - anti Abayudaaya tebakkaanya na Basamariya. -
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya nze omukazi Omusamaliya amazzi okunywa?” (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukazi Omusamariya n'amuddamu nti: “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamariya amazzi okunywa?” (Abayudaaya baali tebatabagana na Basamariya).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya okunywa eri nze omukazi Omusamaliya? (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya.)