John 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya kwe kugamba eyali awonyezeddwa nti: “Luno lwa Sabbaato; tokkirizibwa kwetikka lunnyo lwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti, “Leero ssabbiiti, kya muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya ne bagamba oyo awonyezeddwa nti: “Olwaleero lwa Sabbaato, tokkirizibwa kwetikka katanda ko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti Leero ssabbiiti, muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo.