John 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyawonyezebwa yali tamumanyi; anti ne Yezu yali yeeseebuludde kubanga ekibiina kinene kyali kikuŋŋaanidde mu kifo ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka omusajja eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eyawonyezebwa yali tamanyi Yesu, kubanga Yesu yali amaze okugenda, ate nga abantu abaali mu kifo kiri nga bangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eyawonye nga tamanyi bw'ali: kubanga Yesu yali amaze okugenda, abantu abaali mu kifo kiri nga bangi.