John 5:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma Yezu n'amusanga ate mu Kiggwa n'amugamba nti: “Kale wuuyo kati owonye, leero togezanga n'oyonoona, sikulwa ng'ogwirwa akabi akasingawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’amulaba mu Yeekaalu, n’amugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu Yeekaalu, n'amugamba nti, “Laba, oli mulamu; toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma, Yesu n'asanga omuntu oyo mu Ssinzizo, n'amugamba nti: “Laba, kati owonyezeddwa, toddangayo okwonoona, akabi akasinga kaleme kukubaako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu yeekaalu, n'amugamba nti Laba, oli mulamu: toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako.