John 5:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya kyebaava banoonyeza ddala okumutta, kubanga yali tamenya Sabbaato yokka, naye nga ne Katonda amuyita Kitaawe, ne yessa bw'atyo ku lubu lumu ne Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya Sabbaato kyokka, naye yeeyita n'Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanankana ne Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe ye, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.