John 5:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti Taata ayagala Mwana, amwoleka byonna yennyini by'akola; ate alimwoleka n'ebisinga ku ebyo, nammwe ne mwewuunya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Kitaawe w’Omwana ayagala Omwana we era amulaga ky’akola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga n'emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwewuunye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitaawe w'Omwana oyo, amwagala, amulaga byonna ye yennyini by'akola. Era alimulaga n'ebisinga ku ebyo, mulyoke mwewuunye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwewuunye.