John 5:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbagambira ddala mazima nti obudde bujja, n'okutuuka butuuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda; abaliba bawulidde, baliba balamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda, n'abo abaliwulira baliba balamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima ddala mbagamba nti ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda. Era abo abaliwulira, baliba balamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katoada, n'abo abaliwulira baliba balamu.