John 5:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo abaayisa obulungi balivaayo okuzuukirira obulamu; abaayisa obubi ne bazuukirira okulamulibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bazivaamu. Abo abaakolanga ebirungi, barizuukira ne baba balamu. Abo abaakolanga ebibi, balizuukira ne basingibwa omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.