John 5:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze siyinza kukola kantu ku bwange; nga bwe mpulira, bwe nnamula; era okulamula kwange kutuufu; kubanga sigoberera kye njagala, wabula ekyo eyantuma ky'ayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze siyinza kubaako kye nkola ku bwange. Nsala omusango, nga Katonda bw'andagira okugusala. N'olwekyo ensala yange eba ntuufu, kubanga sikolera ku kye njagala, wabula ku ekyo eyantuma ky'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala.