John 5:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu obuntu si y'anjulira, wabula ebyo mbyogedde mulyoke mulokoke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo ebinkakasa tebiva mu muntu, naye ebyo mbyogera mulyoke mulokolebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si lwa kuba njagala obujulirwa bw'omuntu, naye njogera ebyo mmwe mulokoke.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Si lwa kuba nti njagala okujulirwa omuntu obuntu, naye njogera ebyo mulyoke mulokolebwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okutegeeza kw'omuntu sikukkiriza nze: naye njogera ebyo mmwe mulokoke.