John 5:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze okujulira kwe nnina kusinga n'okwa Yowanna, kubanga ebikolwa Taata bye yampa okukola, ebyo byennyini bye nkola, binjulira nga Kitange ye yantuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye nnina ebinkakasa okukira ebyo ebya Yokaana, bye byamagero bye nkola, Kitange bye yampa, era bikakasa nti Kitange ye yantuma
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye obujulirwa bwe nnina bwe bukulu okusinga obwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu egyo gyennyini gye nkola, era gye gijulira nga Kitange ye yantuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye nnina obujulirwa obusinga n'obwa Yowanne bwe yawa. Ebyo byennyini bye nkola, Kitange bye yandagira okutuukiriza, bye biraga nti Kitange ye yantuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okutegeeza kwe nnina kwe kukulu okusinga okwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu gyennyini gye nkola, gye gitegeeza ebyange nga Kitange ye yantuma.