John 5:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'oyo Taata yennyini eyantuma anjulira; eddoboozi lye temuliwulirangako, era temulabanga na bw'afaanana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne Kitange yennyini eyantuma akakasa ebinkwatako. Temuwuliranga ku ddoboozi lye wadde okulaba ekifaananyi kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Kitange eyantuma oyo yajulira ebyange. Eddoboozi lye temuliwulirangako n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Kitange eyantuma, naye yennyini anjulira. Mmwe temuwuliranga ku ddoboozi lye n'akatono, wadde okulaba bw'afaanana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Kitange eyantuma oyo ye yategeeza ebyange. Temwawulira ddoboozi lye n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye.