John 5:4 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okukkamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe yabanga nabwo.]
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu, n'atabula amazzi. Oyo eyasookanga okukka mu kidiba amazzi nga gamaze okutabulwa, yawonyezebwanga buli bulwadde bwonna bwe yabanga nabwo.]
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okugendamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe bwe yabanga nabwo.