John 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yamulaba ng'agalamidde awo, n'ategeera nga yaakamala ebbanga ddene, n'amugamba nti: “Oyagala okuwona?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti, “Oyagala okuba omulamu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yalaba omuntu oyo ng'agalamidde awo, era n'amanya ng'abadde awo okumala ebbanga ddene, n'amugamba nti: “Oyagala okuwonyezebwa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti Oyagala okuba omulamu?