John 5:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulwadde n'amuddamu nti: “Ssebo, sirina muntu ankasuka mu kidiba amazzi nga gabadde gasambattuse; kubanga nze we ntuukirayo ng'omulala yakkiriddeyo dda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulwadde n'amuddamu nti, “Ssebo, sirina muntu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera, nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulwadde n'amuddamu nti: “Ssebo, sirina muntu anteeka mu kidiba, amazzi nga gatabuse. Nze wentuukirayo, ng'omulala yansoose dda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulwadde n'amuddamu nti Ssebo, sirina muntu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera: nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu.