John 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'agamba nti: “Abantu mubatuuze.” Mu kifo ekyo mwalimu omuddo mungi, abasajja ne batuula, nga bawera ng'enkumi ttaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'agamba nti, “Mutuuze abantu.” Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, baali ng'enkumi ttaano (5,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agamba nti: “Mutuuze abantu.” Waaliwo essubi lingi mu kifo ekyo. Awo abantu bonna ne batuula. Abasajja baali ng'enkumi ttaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'agamba nti Mutuuze abantu. Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, omuwendo ng'enkumi ttaano.