John 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'atoola emigaati; bwe yamala okwebaza, n'agabira abaali batudde; n'ebyennyanja nabyo, buli omu nga bwe yali ayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'atoola emigaati ne yeebaza; n'agabira bali abaali abatudde; n'ebyennyanja n'akola bw'atyo. Bonna ne bafuna nga bwe baayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'atoola emigaati, ne yeebaza Katonda, n'agigabira abantu abatudde. Ne ku byennyanja n'akola bw'atyo. Bonna ne bafuna nga bwe baagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'atoola emigaati; ne yeebaza; n'agabira bali abatudde; n'ebyennyanja bw'atyo nga bwe baayagala.