John 6:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby'obutundutundu obw'emigaati gya sayiri etaano obwalema abo abaalya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n'obukunkumuka obw'emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya bwe baalemwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri eby'obutundutundu obw'emigaati etaano egya bbaale, obwasigalawo nga bamaze okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n'obukunkumuka obw'emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya bwe baalemwa.