John 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bwe baalaba akabonero Yezu k'akoze, ne bagamba nti: “Ono ye Mulanzi ddala ow'okujja mu nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti, “Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bwe baalaba ekyewuunyo Yesu kye yakola, ne bagamba nti: “Ddala ono ye mulanzi alindirirwa okujja mu nsi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.