John 6:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali bavuzeeko sitadiyo ng'amakumi abiri mu ttaano oba asatu, ne balaba Yezu ng'ajja atambula ku nnyanja asemberera eryato, ne batya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'abiri mu ttaano (25), oba asatu (30), ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okuvugako kilomita nga nnya oba ttaano, ne balaba Yesu ng'atambula ku mazzi, ng'asemberera eryato, ne batya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'amakumi abiri mu ttaano, oba makumi asatu, ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya.