John 6:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwaddako, abantu abaali basigadde emitala w'ennyanja baalaba nga tewaali lyato ddala, wabula limu, era nga Yezu teyasaabadde wamu na bayigirizwa be, abayigirizwa nga baagenze bokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku olwaddirira, ekibiina ekyali kiyimiridde emitala w'ennyanja, ne balaba nga waliyo eryato limu, era ne bamanya nga Yesu tasaabadde wamu mu lyato n'abayigirizwa be, naye nga abayigirizwa be bagenze bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali basigadde emitala w'ennyanja, ne balaba nga waliwo eryato limu, era ne bamanya nga Yesu yali tasaabadde mu lyato wamu n'abayigirizwa be, wabula abayigirizwa be nga baagenze bokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olunaku olw'okubiri, ekibiina ekyali kiyimiridde emitala w'ennyanja bwe baalaba nga teriiyo lyato ddala, wabula erimu, era nga ne Yesu tasaabadde wamu mu lyato n'abayigirizwa be, naye abayigirizwa be nga bagenda bokka,