John 6:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baalaba nga Yezu taliimu, newandibadde abayigirizwa be, ne basaabala bennyini mu maato, ne bagguka e Kafarunawumu nga banoonya Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiyo, newakubadde abayigirizwa be, bo bennyini ne basaabala mu maato gali ne bajja e Kaperunawumu, nga banoonya Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo, wadde abayigirizwa be, nabo ne basaabala mu maato, ne bajja e Kafarunawumu nga bamunoonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo ekibiina bwe baalaba nga Yesu taliiyo, newakubadde abayigirizwa be, bo bennyini ne basaabala mu maato gali ne bajja e Kaperunawumu, nga banoonya Yesu.