John 6:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamusanga emitala w'ennyanja, ne bamugamba nti: “Rabbi, wazze ddi eno?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baamusanga emitala w'ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, ozze ddi wano?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bwe baasanga Yesu emitala w'ennyanja, ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, wazze ddi wano?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baamulabira emitala w'ennyanja ne bamugamba nti Labbi, ozze ddi wano?