John 6:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abaanukula nti: “Mbagambira ddala mazima nti temunnoonya kubanga mwalaba obubonero, wabula kubanga mwalya emigaati ne mukkuta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abaddamu n'agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba ebyewuunyo bye nkola, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abaddamu n'agamba nti Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta.