John 6:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleme kukolerera mmere eyonooneka, wabula eyo ebeerera n'etuusa mu bulamu obutaggwaawo Omwana w'Omuntu gy'alibawa; kubanga Katonda Taata ono yamussaako akabonero ke.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temukolereranga kya kulya ekiggwaawo, naye eky'okulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga Kitaffe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleme kuteganira mmere eggwaawo, naye muteganire emmere ey'olubeerera, ewa abantu obulamu obutaggwaawo, Omwana w'Omuntu gy'alibawa. Katonda Kitaawe yamussaako akabonero akalaga obuyinza bwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temukolerera kyakulya ekiggwaawo, naye ekyokulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga KitafFe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero.