John 6:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli eyantuma kino ky'ayagala, nti buli kyonna kye yampa wabulewo ekinfa; wabula nkizuukize ku lunaku olw'oluvannyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyantuma ky'ayagala kino mu bonna be yampa aleme okumbula n'omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw'enkomerero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino eyantuma ky'ayagala, ku bonna be yampa, nneme kufiirwako n'omu, wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw'enkomerero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyantuma ky'ayagala kino mu bonna be yampa aleme okumbula n'omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw'enkomerero.